-
Ebikolwa 12:21-23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Awo ku lunaku abantu lwe baali bakuŋŋaanye, Kerode yayambala ekyambalo ky’obwakabaka n’atuula ku ntebe okusalirwa emisango n’atandika okwogera eri abantu. 22 Abantu abaali bakuŋŋaanye ne boogerera waggulu nti: “Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu!” 23 Amangu ago malayika wa Yakuwa* n’amulwaza, olw’okuba yali tawadde Katonda kitiibwa, n’aliibwa envunyu n’afa.
-