-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Wadde ng’eggye lya Busuuli ery’abalumba lyalimu abantu batono, Yakuwa yawaayo mu mukono gwabwe eggye lya Yuda eryali eddene ennyo,+ kubanga baali balese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe; bwe batyo Abasuuli ne babonereza Yekowaasi. 25 Bwe baagenda (baamuleka alina ebisago eby’amaanyi*), abaweereza be ne bamwekobaanira olw’okuyiwa omusaayi gw’abaana ba* Yekoyaada+ kabona, ne bamuttira ku kitanda kye.+ Bw’atyo n’afa era ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi,+ naye tebaamuziika we baaziikanga bakabaka.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Awo Akazi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga Yerusaalemi, naye tebaamuziika we baaziikanga bakabaka ba Isirayiri.+ Keezeekiya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.
-