20 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Keezeekiya, ebikolwa bye eby’obuzira era ne bwe yasima ekidiba+ n’omukutu n’aleeta amazzi mu kibuga,+ biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda.
30 Keezeekiya ye yaziba omukutu ogw’amazzi+ ga Gikoni ogw’eky’engulu,+ amazzi n’agawugula ne gakulukuta nga gadda ku luuyi olw’ebugwanjuba mu Kibuga kya Dawudi.+ Keezeekiya n’aweebwa omukisa mu buli kintu kye yakola.