Okubala 24:18 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 18 Edomu alitwalibwa,+Seyiri+ alitwalibwa abalabe be,+Nga ye Isirayiri ayolesa obuzira bwe. 2 Samwiri 8:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 Yateeka enkambi z’abasirikale mu Edomu. Mu Edomu yonna yateekamu enkambi z’abasirikale, era Abeedomu bonna baafuuka baweereza ba Dawudi.+ Yakuwa yawanga Dawudi obuwanguzi* yonna gye yagendanga.+
14 Yateeka enkambi z’abasirikale mu Edomu. Mu Edomu yonna yateekamu enkambi z’abasirikale, era Abeedomu bonna baafuuka baweereza ba Dawudi.+ Yakuwa yawanga Dawudi obuwanguzi* yonna gye yagendanga.+