Olubereberye 15:18 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 18 Ku lunaku olwo Yakuwa n’akola endagaano ne Ibulaamu+ ng’agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno,+ okuva ku mugga gw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Omugga Fulaati:+ Okuva 23:31 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 31 “Nja kussaawo ensalo zo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga;*+ abantu b’omu nsi eyo nja kubawaayo mu mukono gwo era ojja kubagoba mu maaso go.+ 1 Bassekabaka 4:21 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 21 Sulemaani yali afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga*+ okutuuka ku nsi y’Abafirisuuti n’okutuukira ddala ku nsalo ya Misiri. Abantu b’omu bitundu ebyo baawanga Sulemaani omusolo, era baamuweerezanga ekiseera kyonna kye yamala nga mulamu.+ Zabbuli 72:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanjaN’okuva ku Mugga* okutuuka ensi gy’ekoma.+
18 Ku lunaku olwo Yakuwa n’akola endagaano ne Ibulaamu+ ng’agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno,+ okuva ku mugga gw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Omugga Fulaati:+
31 “Nja kussaawo ensalo zo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga;*+ abantu b’omu nsi eyo nja kubawaayo mu mukono gwo era ojja kubagoba mu maaso go.+
21 Sulemaani yali afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga*+ okutuuka ku nsi y’Abafirisuuti n’okutuukira ddala ku nsalo ya Misiri. Abantu b’omu bitundu ebyo baawanga Sulemaani omusolo, era baamuweerezanga ekiseera kyonna kye yamala nga mulamu.+