LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 18:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 9 Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ng’ogwo gwe gwali omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya+ mutabani wa Ela kabaka wa Isirayiri, Kabaka Salumaneseri owa Bwasuli yalumba Samaliya n’akizingiza.+

  • 2 Bassekabaka 24:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 24 Mu kiseera kya Yekoyakimu, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yalumba Yuda, Yekoyakimu n’afuuka omuweereza we okumala emyaka esatu, kyokka oluvannyuma n’amujeemera.

  • 2 Bassekabaka 25:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 25 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya, mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yagenda n’eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemi.+ Yasiisira okukirwanyisa era n’akizimbako ekigo,+

  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 32:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 32 Oluvannyuma lw’ebyo, era nga Keezeekiya amaze okulaga obwesigwa ng’obwo,+ Sennakeribu kabaka wa Bwasuli yajja n’alumba Yuda, n’azingiza ebibuga ebyaliko bbugwe ng’ayagala okumenya bbugwe waabyo abiwambe.+

  • Yeremiya 39:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 39 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya owa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni n’eggye lye lyonna ne bajja e Yerusaalemi, ne bakizingiza.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share