-
Okuva 1:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 N’ekyavaamu, Abamisiri ne bakozesa Abayisirayiri emirimu egy’obuddu egy’amaanyi ennyo.+ 14 Ne bakalubya obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu egy’amaanyi egy’okusamba obudongo n’okukuba amatoffaali, era nga babakozesa buli mulimu ogw’amaanyi ogw’omu nnimiro. Bwe batyo, ne babakozesa nnyo mu mbeera enzibu era ne babakozesa buli mulimu ogw’obuddu.+
-