-
Ekyamateeka 32:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Yamutambuliza ku bifo by’ensi ebigulumivu,+
N’alya emmere ey’omu nnimiro.+
Yamuliisa omubisi gw’enjuki okuva mu lwazi
N’amafuta okuva mu lwazi olugumu,
14 Yamuwa omuzigo oguva mu ggana n’amata agava mu kisibo,
N’endiga ezisingayo obulungi,*
N’endiga ennume ez’e Basani, n’embuzi ennume,
N’eŋŋaano esingayo obulungi;+
Era yanywa envinnyo eva mu mubisi* gw’ezzabbibu.
-