-
Yeremiya 7:23, 24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Naye nnabawa ekiragiro kino: “Mugondere eddoboozi lyange, nange nja kubeera Katonda wammwe, nammwe mubeere bantu bange.+ Mutambulirenga mu makubo gonna ge mbalagira, ebintu bibagendere bulungi.”’+ 24 Kyokka tebaawuliriza wadde okuntegera amatu,+ wabula baatambulira mu kuteesa kwabwe* bo, ne bagugubira ku ebyo emitima gyabwe emibi bye gyagala,+ era badda emabega, so si mu maaso,
-
-
Yeremiya 11:7, 8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Nnakuutira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ya Misiri n’okutuusa leero, nnabakuutira enfunda n’enfunda* nti: “Mugondere eddoboozi lyange.”+ 8 Naye tebaawuliriza wadde okuntegera okutu; wabula buli omu yagugubira ku ebyo omutima gwe omubi bye gwagala.+ Kyennava mbaleetako ebigambo byonna ebiri mu ndagaano eno olw’okuba tebaagondera bye nnabalagira.’”
-
-
Mikka 6:16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Mutambulira mu biragiro bya Omuli ne mu bikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu,+
Era mukolera ku magezi gaabwe.
Eyo ye nsonga lwaki nja kubafuula ekintu eky’entiisa.
-