LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 53:obugambo obuli waggulu-6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Makalasi.* Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi.

      53 Omusirusiru agamba mu mutima gwe nti:

      “Yakuwa taliiyo.”+

      Ebitali bya butuukirivu bye bakola bibi nnyo era bya muzizo.

      Tewali n’omu akola birungi.+

       2 Naye Katonda ayima mu ggulu n’atunuulira abaana b’abantu,+

      Okulaba obanga waliwo ategeera, okulaba obanga waliwo anoonya Yakuwa.+

       3 Bonna bawabye,

      Bonna boonoonefu;

      Tewali akola birungi.

      Tewali n’omu bw’ati.+

       4 Tewali n’omu ku boonoonyi ategeera?

      Balya abantu bange ng’abalya emmere.

      Tebakoowoola Yakuwa.+

       5 Naye balifuna entiisa ey’amaanyi,

      Entiisa gye batafunangako,*

      Kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abo abakulumba.

      Olibaleetera okuswala, kubanga Yakuwa abeesambye.

       6 Singa nno Isirayiri afuna obulokozi okuva mu Sayuuni!+

      Yakuwa ng’akomezzaawo abantu be abaawambibwa,

      Yakobo k’asanyuke, Isirayiri k’ajaguze.

  • Abaruumi 3:10-12
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 10 nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali muntu mutuukirivu, wadde omu bw’ati;+ 11 tewali n’omu ategeera, tewali n’omu anoonya Katonda. 12 Abantu bonna baawaba, bonna wamu bafuuse abatagasa; tewali n’omu alaga kisa, tewali wadde omu bw’ati.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share