-
Okubala 16:5-7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 N’agamba Koola n’abawagizi be bonna nti: “Ku makya Yakuwa ajja kutumanyisa owuwe,+ era omutukuvu, era asaanidde okusembera w’ali;+ oyo yenna gw’anaalonda+ y’anaasembera w’ali. 6 Mukole bwe muti: Koola n’abawagizi+ bo bonna mufune ebyoterezo+ 7 mubiteekemu omuliro era mubiteekeko obubaani nga muli mu maaso ga Yakuwa enkya, olwo oyo Yakuwa gw’anaalonda+ nga ye mutukuvu. Mutuyitiriddeko mmwe abaana ba Leevi!”+
-