-
Yeremiya 49:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba Edomu:
“Tekyali magezi mu Temani?+
Abategeevu tebakyawa magezi malungi?
Amagezi gaabwe gavunze?
-
-
Obadiya 10-13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Ku lunaku lwe wayimirira awo n’otunula butunuzi,
Ku lunaku bannaggwanga lwe baatwala amagye ge mu buwambe,+
Abagwira lwe baayingira mu miryango gye ne bakuba obululu+ ku Yerusaalemi,
Naawe wali ng’omu ku bo.
12 Tosaanidde kusanyukira ekyo ekituuka ku muganda wo, ku lunaku lw’atuusiddwako akabi;+
Tosaanidde kusanyuka ku lunaku abantu ba Yuda lwe bazikirira;+
Era tosaanidde kuduula ku lunaku lwe balabirako ennaku.
13 Tosaanidde kuyingira mu mulyango gw’abantu bange ku lunaku lwe bafunirako emitawaana.+
Tosaanidde kusanyukira nnaku ye ku lunaku lw’afunirako emitawaana;
Era tosaanidde kussa mukono gwo ku bya bugagga bye ku lunaku lw’afunirako emitawaana.+
-