-
2 Samwiri 7:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Nnakuggya ku ttale, olekere awo okulunda endiga+ ofuuke omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.+ 9 Nja kubeeranga naawe buli gy’onoogendanga,+ era nja kuzikiriza abalabe bo bonna bave mu maaso go.+ Ate era erinnya lyo nja kulifuula kkulu,+ era ojja kuba omu ku bantu abamanyifu ennyo mu nsi.
-