Zabbuli 6:2 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 Nkwatirwa ekisa,* Ai Yakuwa, kubanga mpulira amaanyi ganzigwaamu. Mponya, Ai Yakuwa,+ kubanga amagumba gange gakankana. Zabbuli 41:4 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 4 Nnagamba nti: “Ai Yakuwa, nkwatirwa ekisa.+ Mponya,+ kubanga nnyonoonye mu maaso go.”+ Zabbuli 51:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 Nsobozesa okuwulira amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza,Amagumba ge wabetenta gasanyuke.+
2 Nkwatirwa ekisa,* Ai Yakuwa, kubanga mpulira amaanyi ganzigwaamu. Mponya, Ai Yakuwa,+ kubanga amagumba gange gakankana.