LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 49:10
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 10 Buli omu akiraba nti n’ab’amagezi bafa;

      Abasirusiru n’abatalina magezi bazikiririra wamu,+

      Obugagga bwabwe ne babulekera abalala.+

  • Omubuulizi 2:18, 19
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 18 Nnakyawa byonna bye nnafuba okukola wansi w’enjuba,+ kubanga nnali ŋŋenda kubirekera oyo eyandinziriridde.+ 19 Ani amanyi oba aliba wa magezi oba musirusiru?+ So ng’ate ebintu byange byonna bye nnafuna wansi w’enjuba olw’okukola ennyo n’okukozesa amagezi bijja kusigala mu mikono gye. Ekyo nakyo butaliimu.

  • Omubuulizi 4:8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 8 Wabaawo omuntu ng’ali bw’omu bw’ati, nga talina munne, wadde omwana, wadde muganda we, kyokka ng’akola butaweera. Amaaso ge tegamatira bya bugagga.+ Naye amala ne yeebuuza nti, ‘Ani gwe nteganira era lwaki nneerumya’?+ Ekyo nakyo butaliimu era kinakuwaza.+

  • Lukka 12:19, 20
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 19 era nja kwegamba nti: “Olina ebintu ebirungi bingi ebinaakumazaako emyaka mingi; weewummulire, olye, onywe, era osanyuke.”’ 20 Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe, mu kiro kino bagenda kukuggyako obulamu bwo. Kati olwo ani agenda okutwala ebintu by’oterese?’+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share