-
Ekyamateeka 6:10-12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Era Yakuwa Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo okugikuwa,+ ensi omuli ebibuga ebinene era ebirabika obulungi by’otaazimba,+ 11 n’ennyumba ezijjude ebintu ebirungi ebya buli ngeri by’otaakolerera, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeyituuni gy’otaasimba, n’olya n’okutta,+ 12 fuba okulaba nti teweerabira Yakuwa+ eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.
-