-
Okuva 30:23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 “Oluvannyuma ojja kufuna n’eby’akaloosa bino ebisingayo obulungi: sekeri 500 eza miira eyeekutte, sekeri 250 eza mudalasiini ow’akaloosa, sekeri 250 eza kaani ow’akaloosa,
-
-
Okuva 30:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Ojja kubikolamu amafuta amatukuvu era galina okuba nga gatabuddwa mu ngeri ey’ekikugu.+ Gajja kuba mafuta matukuvu.
-
-
Eseza 2:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Buli muwala yalina okugenda eri Kabaka Akaswero oluvannyuma lw’okukolebwako okumala emyezi 12 ng’abakazi bwe baali balagiddwa okukolebwako, kubanga baalina okukolebwako bwe bati—baalina okumala emyezi mukaaga nga basiigibwa amafuta ga miira,+ n’emyezi mukaaga nga basiigibwa amafuta ga basamu+ n’amafuta amalala ag’okubakolako.
-
-
Zabbuli 45:8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Ebyambalo byo byonna biwunya obuloosa bwa miira ne alowe ne kasiya;
Ebivuga eby’enkoba ebivugira mu lubiri olunene oluyooyooteddwa n’amasanga bikusanyusa.
-
-
Oluyimba lwa Sulemaani 4:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 “Ng’empewo y’emisana tennatandika kukunta, era nga n’ebisiikirize tebinnaggwaawo,
Nja kugenda ku lusozi lwa miira
Ne ku kasozi k’obubaani obweru.”+
-