-
Isaaya 8:3, 4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Awo ne nneegatta* ne nnabbi omukazi,* n’aba olubuto era oluvannyuma n’azaala omwana ow’obulenzi.+ Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Mutuume Makeru-salalu-kasu-bazi, 4 kubanga omwana oyo aliba tannayiga kuyita nti, ‘Taata!’ oba nti ‘Maama!’ obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gw’omu Samaliya biritwalibwa mu maaso ga kabaka wa Bwasuli.”+
-