-
Isaaya 20:3, 4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Ng’omuweereza wange Isaaya bw’atambudde ng’ali bwereere era nga tayambadde ngatto okumala emyaka esatu okuba akabonero+ era okuba okulabula ku ekyo ekirituuka ku Misiri+ ne ku Esiyopiya,+ 4 bw’atyo kabaka wa Bwasuli bw’alitwala abantu abaliba bawambiddwa e Misiri+ n’abaliba bawaŋŋangusiddwa okuva mu Esiyopiya, abalenzi n’abasajja abakulu, nga bali bwereere, nga tebambadde ngatto, era ng’obubina bwabwe buli bweru. Misiri eriswazibwa.
-
-
Yeremiya 46:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 “Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri agamba nti: ‘Kaakano mbonereza Amoni+ ow’e No,*+ ne Falaawo, ne Misiri, ne bakatonda baayo,+ ne bakabaka baayo; Falaawo n’abo bonna abamwesiga.’+
26 “‘Nja kubawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni+ n’abaweereza be. Naye oluvannyuma Misiri ejja kubeeramu abantu nga bwe kyali edda,’ Yakuwa bw’agamba.+
-