LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 50:3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  3 Kubanga eggwanga limulumbye nga liva ebukiikakkono.+

      Ensi ye ligifudde ekintu eky’entiisa;

      Tewali n’omu agibeeramu.

      Abantu n’ensolo bidduse;

      Bigenze.”

  • Yeremiya 50:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  9 Kubanga laba, mpendulira Babulooni era mmuleetera

      Ekibiina ky’amawanga ag’amaanyi okuva mu nsi ey’ebukiikakkono.+

      Bajja kumulumba nga basimbye ennyiriri;

      Bajja kumuwamba nga bava ku luuyi olwo.

      Obusaale bwabwe bulinga obw’omulwanyi

      Obutta abaana;+

      Tebulemwa kuteeba.

  • Yeremiya 51:27, 28
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 27 “Muwanike akabonero* mu nsi.+

      Mufuuwe eŋŋombe mu mawanga.

      Mulonde* amawanga gamulwanyise.

      Muyite obwakabaka bwa Alalati,+ obwa Mini, n’obwa Asukenaazi+ bumulwanyise.

      Muteekeewo omusirikale awandiika abasirikale ab’okumulwanyisa.

      Mulinnyise embalaasi ng’ebibinja by’enzige ento.

      28 Mulonde* amawanga gamulwanyise,

      Bakabaka ba Bumeedi,+ bagavana baayo, n’abakungu baayo bonna

      N’ensi zonna ze bafuga.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share