-
2 Bassekabaka 25:4, 5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Bbugwe w’ekibuga yakubibwamu ekituli;+ Abakaludaaya bwe baali nga bazingizza ekibuga, abasirikale bonna baakiddukamu ekiro nga bayita mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka; ate ye kabaka yayitira mu kkubo erigenda mu Alaba.+ 5 Naye eggye ly’Abakaludaaya lyawondera kabaka, ne limusanga mu ddungu lya Yeriko, era eggye lye lyonna ne limwabulira ne lisaasaana.
-