-
Yeremiya 8:18, 19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Ennaku yange teyinza kuwona;
Omutima gwange mulwadde.
19 Eddoboozi eriwanjaga liwulirwa mu nsi ey’ewala
Lya muwala w’abantu bange:
“Yakuwa tali mu Sayuuni?
Oba kabaka waakyo tali mu kyo?”
“Lwaki bannyiiza n’ebifaananyi byabwe ebyole,
Ne bakatonda abalala abatalina mugaso?”
-
-
Yeremiya 9:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Singa omutwe gwange gubadde mazzi,
Nga n’amaaso gange nsulo y’amaziga!+
Abantu bange abattiddwa
Nnandibakaabidde emisana n’ekiro.
-