LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 5:12
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 12 Baba n’entongooli n’ebivuga ebirala eby’enkoba,

      N’obugoma obutono, n’endere, n’omwenge ku bijjulo byabwe;

      Naye tebalowooza ku bikolwa bya Yakuwa,

      Era tebalaba mirimu gya mikono gye.

  • Isaaya 56:12
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 12 “Mujje, ka ndeete omwenge,

      Ka tugwekamirire.+

      N’olw’enkya lujja kuba ng’olwa leero, era n’okulusinga!”

  • Amosi 6:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 6 “Zibasanze abo abeekakasa ennyo* abali mu Sayuuni,

      Abo abatalina kye beeraliikirira ku lusozi lw’e Samaliya!+

      Abatutumufu mu ggwanga ekkulu mu mawanga gonna,

      Abo ennyumba ya Isirayiri gy’egenda.

  • Amosi 6:4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  4 Bagalamira ku bitanda eby’amasanga+ era beegololera mu ntebe ennungi,+

      Nga balya endiga ennume ez’omu bisibo, n’ente ento ensava;*+

  • Lukka 17:27
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 27 baali balya, nga banywa, ng’abasajja bawasa, nga n’abakazi bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,+ Amataba ne gajja ne gabazikiriza bonna.+

  • Yakobo 5:5
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 5 Muli mu bulamu obw’okwejalabya era mwenyigidde mu by’amasanyu ku nsi. Musavuwazza emitima gyammwe ku lunaku olw’okuttirako.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share