-
Yeremiya 25:22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 bakabaka bonna ab’e Ttuulo, bakabaka bonna ab’e Sidoni,+ ne bakabaka b’ekizinga ekiri mu nnyanja;
-
-
Ezeekyeri 26:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Laba, ndi mulabe wo ggwe Ttuulo, era ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo, nange nja kuleeta amawanga mangi gakulwanyise.
-
-
Ezeekyeri 27:2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Ggwe omwana w’omuntu, yimbira Ttuulo oluyimba olw’okukungubaga,+
-
-
Yoweeri 3:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Kiki kye munvunaana,
Ggwe Ttuulo ne Sidoni nammwe mmwenna ebitundu bya Bufirisuuti?
Nnina kye nnabakola kye munneesasuza?
Bwe muba nga munneesasuza,
Mu bwangu ddala nange nja kubakola nga bwe mukoze.+
-