-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 32:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Keezeekiya tababuzaabuza kubawaayo mufe enjala n’ennyonta ng’abagamba nti: “Yakuwa Katonda waffe ajja kutuwonya mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli.”+
-
-
Danyeri 3:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Kale nno, bwe munaawulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ery’endere, ery’entongooli entono, ery’ebivuga eby’enkoba eby’ebika eby’enjawulo, ery’endere ennene, n’ery’ebivuga ebirala byonna, ne muba nga muli beetegefu okuvunnama ne musinza ekifaananyi ekya zzaabu kye nnakola, ekyo kijja kuba kirungi. Naye bwe munaagaana okukisinza, mangu ddala mujja kusuulibwa mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja. Kale katonda ki oyo asobola okubanunula mu mukono gwange?”+
-