-
2 Bassekabaka 20:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Mu kiseera ekyo kabaka wa Babulooni, Berodaaki-baladani, mutabani wa Baladani, yaweereza Keezeekiya amabaluwa n’ekirabo, olw’okuba yali awulidde nti Keezeekiya emabegako yali mulwadde.+ 13 Keezeekiya yayaniriza* ababaka n’abalaga ennyumba ye yonna omwali eby’obugagga+—ffeeza, zzaabu, amafuta ga basamu, amafuta amalala ag’omuwendo, eby’okulwanyisa bye, n’ebintu byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu nnyumba ye* ne mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
-