8 Ensalo era yayambuka n’etuuka ku Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu+ ku kaserengeto k’Abayebusi+ ku luuyi olw’ebukiikaddyo, kwe kugamba, Yerusaalemi,+ n’eyambuka waggulu ku ntikko y’olusozi oluli ebugwanjuba w’Ekiwonvu kya Kinomu, ku nkomerero y’Ekiwonvu ky’Abaleefa ku luuyi olw’ebukiikakkono.