28Akazi+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 20, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi. Teyakola birungi mu maaso ga Yakuwa nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.+
3 Yanyookereza omukka gwa ssaddaaka mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu* era n’ayokya abaana be mu muliro+ ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga+ Yakuwa ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
6 Yayokya* abaana be mu muliro+ mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,+ n’akola eby’obufumu,+ eby’obulaguzi, n’eby’obulogo, era n’assaawo abalubaale n’abalaguzi.+ Yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa, okumusunguwaza.
31 Bazimbye ebifo ebigulumivu eby’e Tofesi, ekiri mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,*+ okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ ekintu kye siragirangako era ekitayingirangako mu mutima gwange.’*+