-
Yeremiya 45:2-5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku ggwe Baluki, 3 ‘Ogambye nti: “Zinsanze, kubanga Yakuwa ayongedde obuyinike ku bulumi bwange! Okusinda kwange kunkooyezza, era sifunye kiwummulo.”’
4 “Mugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba! Mmenya bye nnazimba, era nsimbula bye nnasimba—ensi eno yonna.+ 5 Naye weenoonyeza* ebikulu. Lekera awo okunoonya ebintu ng’ebyo.”’
“‘Kubanga nnaatera okuleeta akabi ku bantu bonna,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘era yonna gy’onoogenda nja kuwonyaawo obulamu bwo.’”+
-