12 n’agenda mu nnyumba ya kabaka, mu kisenge eky’omuwandiisi. Abaami bonna baali batudde omwo: Erisaama+ omuwandiisi, Deraya mutabani wa Semaaya, Erunasani+ mutabani wa Akubooli,+ Gemaliya mutabani wa Safani, Zeddeekiya mutabani wa Kananiya, n’abaami abalala bonna.