-
Yeremiya 25:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 “N’olwekyo bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘“Olw’okuba temwagondera bigambo byange, 9 ŋŋenda kutumya ab’amawanga gonna ag’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba, “n’omuweereza wange+ Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era nja kubaleeta balwanyise ensi eno,+ n’abagibeeramu bonna, n’amawanga gonna agabeetoolodde.+ Nja kubazikiriza era mbafuule ekintu eky’entiisa era eky’okufuuyira oluwa, era mbafuule amatongo ag’olubeerera.
-