-
Yeremiya 43:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Laba ntumya Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni omuweereza wange,+ era nja kuteeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nkwese, era ajja kusimba weema ye ey’obwakabaka ebikke ku mayinja gano.+ 11 Ajja kugenda alumbe ensi ya Misiri.+ Ow’okufa endwadde ez’amaanyi ajja kufa endwadde ez’amaanyi, ow’okuwambibwa ajja kuwambibwa, ow’okufa ekitala ajja kufa kitala.+
-