-
Ekyamateeka 13:6-9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 “Singa muganda wo, omwana wa nnyoko, oba mutabani wo oba muwala wo oba mukazi wo gw’oyagala ennyo oba mukwano gwo nfiirabulago, agezaako okukusendasenda mu kyama ng’agamba nti, ‘Tugende tuweereze bakatonda abalala,’+ bakatonda b’otomanyi era ne bajjajjaabo be baali batamanyi, 7 abamu ku bakatonda b’amawanga agakwetoolodde, ka gabe ago agakuli okumpi oba ago agakuli ewala, okuva ku luuyi olumu olw’ensi okutuuka ku lulala, 8 tokkirizanga by’akugamba era tomuwulirizanga;+ tomukwatirwanga kisa, era tomusaasiranga wadde okumuzibira, 9 naye omuttanga.+ Ggwe onoosookanga okumukuba amayinja okumutta, n’abalala bonna ne balyoka bamukuba amayinja.+
-
-
Ekyamateeka 32:17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Baawaayo ssaddaaka eri badayimooni so si eri Katonda,+
Eri bakatonda be baali batamanyi,
Abapya abaali baakajja,
Eri bakatonda bajjajjammwe be bataamanya.
-