43 Kaakano bw’ati Yakuwa bw’agamba,
Oyo eyakutonda ggwe Yakobo, Oyo eyakubumba ggwe Isirayiri:+
“Totya, kubanga nnakununula.+
Nnakuyita erinnya lyo.
Oli wange.
2 Bw’oliyita mu mazzi, ndibeera wamu naawe,+
Era bw’oliyita mu migga, tegirikusaanyaawo.+
Bw’oliyita mu muliro, tegulikwokya,
Wadde ennimi zaagwo okukubabula.