-
Isaaya 15:4-6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Eyo ye nsonga lwaki abalwanyi ba Mowaabu baleekaana.
Akankana.
5 Omutima gwange gukaabira Mowaabu.
Abantu be abanoonya obubudamu badduse ne batuuka e Zowaali+ n’e Egulasu-serisiya.+
Bakaaba nga balinnyalinnya awambukirwa e Lukisi;
Nga bali mu kkubo erigenda e Kolonayimu, bakaaba olw’akabi akaguddewo.+
6 Kubanga amazzi ga Nimulimu gakalidde;
Omuddo gukaze,
Omuddo guweddewo era tewali kintu kya kiragala kisigaddewo.
-