LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 21:2
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  2 Ntegeezeddwa okwolesebwa okw’entiisa:

      Omukuusa akola eby’obukuusa,

      N’omuzikiriza azikiriza.

      Yambuka ggwe Eramu! Zingiza ggwe Bumeedi!+

      Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleetawo.+

  • Yeremiya 51:11
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 11 “Muwagale obusaale;+ mukwate engabo enneetooloovu.*

      Yakuwa akumye omuliro mu bakabaka b’Abameedi,+

      Kubanga ayagala okuzikiriza Babulooni.

      Kuno kuwoolera ggwanga, Yakuwa awoolera eggwanga olwa yeekaalu ye.

  • Yeremiya 51:27, 28
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 27 “Muwanike akabonero* mu nsi.+

      Mufuuwe eŋŋombe mu mawanga.

      Mulonde* amawanga gamulwanyise.

      Muyite obwakabaka bwa Alalati,+ obwa Mini, n’obwa Asukenaazi+ bumulwanyise.

      Muteekeewo omusirikale awandiika abasirikale ab’okumulwanyisa.

      Mulinnyise embalaasi ng’ebibinja by’enzige ento.

      28 Mulonde* amawanga gamulwanyise,

      Bakabaka ba Bumeedi,+ bagavana baayo, n’abakungu baayo bonna

      N’ensi zonna ze bafuga.

  • Yeremiya 51:48
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 48 Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu

      Birireekaana olw’essanyu Babulooni bw’erigwa,+

      Kubanga abazikiriza balijja nga bava ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba.

  • Danyeri 5:28
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 28 “PERES, obwakabaka bwo bwawuziddwamu ne buweebwa Abameedi n’Abaperusi.”+

  • Danyeri 5:30
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 30 Mu kiro ekyo kyennyini, Berusazza, kabaka Omukaludaaya, yattibwa,+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share