27 “Muwanike akabonero mu nsi.+
Mufuuwe eŋŋombe mu mawanga.
Mulonde amawanga gamulwanyise.
Muyite obwakabaka bwa Alalati,+ obwa Mini, n’obwa Asukenaazi+ bumulwanyise.
Muteekeewo omusirikale awandiika abasirikale ab’okumulwanyisa.
Mulinnyise embalaasi ng’ebibinja by’enzige ento.