-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:17, 18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Kyeyava abaleetera kabaka w’Abakaludaaya+ eyatta n’ekitala abavubuka baabwe+ mu kifo kyabwe ekitukuvu.+ Teyasaasira mulenzi wadde omuwala, omukadde wadde oyo aliko obulemu.+ Katonda yawaayo buli kimu mu mukono gwe.+ 18 Ebintu byonna eby’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima, ebinene n’ebitono, n’eby’obugagga eby’omu nnyumba ya Yakuwa n’eby’obugagga bya kabaka n’eby’abaami be, byonna yabitwala e Babulooni.+
-