2 “Mukyogereko mu mawanga era mukirangirire.
Muwanike akabonero era mukirangirire.
Temukweka kintu kyonna!
Mugambe nti, ‘Babulooni awambiddwa.+
Beri aswaziddwa.+
Merodaaki atidde nnyo.
Ebifaananyi bye biswaziddwa.
Ebifaananyi bye ebyenyinyaza bitidde nnyo.’