LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 28:53-57
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 53 Olirya abaana bo,* ennyama ya batabani bo ne bawala bo,+ Yakuwa Katonda wo b’aliba akuwadde, olw’okuzingizibwa okuliba okw’amaanyi n’olw’ennaku ennyingi abalabe bo gye balikulabya.

      54 “N’omusajja asingayo okuba omwegendereza mu mmwe era eyeenaanya talisaasira muganda we wadde mukazi we gw’ayagala ennyo wadde abaana be abaliba basigaddewo, 55 era talibawa ku nnyama y’abaana be gy’aliba alya, kubanga taliba na kintu kirala kyonna olw’okuzingizibwa okuliba okw’amaanyi, n’olw’ennaku ennyingi omulabe wo gy’alireeta ku bibuga byo.+ 56 N’omukazi omwegendereza mu mmwe era eyeenaanya, eyali talowooza nti asobola n’okuteeka ekigere kye ku ttaka olw’okwenaanya+ talisaasira bbaawe gw’ayagala ennyo ne mutabani we ne muwala we, 57 era talyagala kubawa ku nnyama y’omwana we gw’aliba azadde wadde ku kitanyi ekiriva mu lubuto lwe. Byonna alibiriira mu nkukutu, olw’okuzingizibwa okuliba okw’amaanyi n’olw’ennaku ennyingi omulabe wo gy’alireeta mu bibuga byo.

  • 2 Bassekabaka 25:3-7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogw’okuna, enjala yali ya maanyi nnyo+ mu kibuga, era abantu b’omu nsi eyo tebaalina mmere.+ 4 Bbugwe w’ekibuga yakubibwamu ekituli;+ Abakaludaaya bwe baali nga bazingizza ekibuga, abasirikale bonna baakiddukamu ekiro nga bayita mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka; ate ye kabaka yayitira mu kkubo erigenda mu Alaba.+ 5 Naye eggye ly’Abakaludaaya lyawondera kabaka, ne limusanga mu ddungu lya Yeriko, era eggye lye lyonna ne limwabulira ne lisaasaana. 6 Awo ne bakwata kabaka+ ne bamutwala eri kabaka wa Babulooni e Libula, ne bamusalira omusango. 7 Batta batabani ba Zeddeekiya ng’alaba, Nebukadduneeza n’amuggyamu amaaso, n’amusiba empingu ez’ekikomo n’amutwala e Babulooni.+

  • Isaaya 3:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 Laba! Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,

      Aggya mu Yerusaalemi ne mu Yuda ebintu byonna bye beetaaga,

      Emmere n’amazzi,+

  • Ezeekyeri 4:16
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 16 Era n’ayongera n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ŋŋenda kusaanyaawo amaterekero g’emmere* mu Yerusaalemi.+ Emmere banaalyanga mpime,+ nga beeraliikirivu nnyo, era n’amazzi banaanywanga magere,+ nga bali mu ntiisa.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share