-
Yeremiya 17:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 “‘“Kyokka, bwe munaŋŋondera,” Yakuwa bw’agamba, “ne mutayisa mugugu gwonna mu miryango gy’ekibuga kino ku lunaku lwa Ssabbiiti, era olunaku lwa Ssabbiiti ne mulutwala nga lutukuvu ne mutakolerako mulimu gwonna,+ 25 olwo bakabaka n’abaami abatuula ku ntebe ya Dawudi+ nabo bajja kuyingirira mu miryango gy’ekibuga kino, nga bali mu ggaali ne ku mbalaasi, bakabaka n’abaami baabwe, abantu ba Yuda n’ababeera mu Yerusaalemi;+ era ekibuga kino kijja kubeeramu abantu emirembe n’emirembe.
-