-
2 Bassekabaka 23:29, 30Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
29 Mu biseera bye, Falaawo Neeko kabaka wa Misiri yagenda okusisinkana kabaka wa Bwasuli ku Mugga Fulaati, Kabaka Yosiya n’agenda okumwaŋŋanga; naye Neeko bwe yalaba Yosiya, n’amuttira e Megiddo.+ 30 Awo abaweereza be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali, ne bamuggya e Megiddo ne bamutwala e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Oluvannyuma lw’ekyo abantu b’omu Yuda ne bafuka amafuta ku mutabani we Yekoyakazi, ne bamufuula kabaka n’atandika okufuga mu kifo kya kitaawe.+
-