17 “Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Temuŋŋondedde; buli omu tawadde muganda we na munne ddembe.+ N’olwekyo ŋŋenda kubawa eddembe nga muttibwa n’ekitala, n’endwadde, n’enjala,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘era nja kubafuula ekintu eky’entiisa eri obwakabaka bwonna obw’omu nsi.+