LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 24:12
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 12 Kabaka Yekoyakini owa Yuda yeewaayo eri kabaka wa Babulooni+ awamu ne nnyina, n’abaweereza be, n’abaami be, era n’abakungu b’omu lubiri lwe;+ kabaka wa Babulooni n’atwala Yekoyakini mu buwambe mu mwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bwe.+

  • 2 Bassekabaka 24:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Yatwala mu buwaŋŋanguse abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, abaami bonna,+ abalwanyi bonna ab’amaanyi, buli mukugu yenna mu by’emikono na buli muweesi*+—yatwala abantu 10,000 mu buwaŋŋanguse. Tewaasigala muntu okuggyako abantu b’omu nsi abaali basingayo okuba abaavu.+

  • Yeremiya 24:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 24 Awo Yakuwa n’andaga ebisero bibiri ebyalimu ettiini nga biteereddwa mu maaso ga yeekaalu ya Yakuwa. Ekyo kyaliwo nga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni amaze okuggya mu Yerusaalemi Yekoniya*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ n’amutwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni awamu n’abaami ba Yuda, n’abakugu mu kukola eby’emikono, era n’abaweesi.*+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share