4 Ndikukyusa ne nteeka amalobo mu mba zo+ ne nkuggyayo ggwe n’eggye lyo lyonna eddene,+ n’embalaasi zo n’abasajja abazeebagala, nga bonna bambadde ebyambalo eby’ekitiibwa, ekibiina ekinene, nga balina engabo ennene n’entono, era nga bonna bakutte ebitala;