-
Isaaya 34:6-8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Yakuwa alina ekitala; kiribuna omusaayi.
Kirijjula amasavu,+
Kirijjula omusaayi gw’endiga ento ennume n’ogw’embuzi,
Kirijjula amasavu g’ensigo z’endiga ennume.
Kubanga Yakuwa ateeseteese ssaddaaka mu Bozula,
Walibaawo okutta kungi mu nsi ya Edomu.+
7 Sseddume ez’omu nsiko ziriserengeta wamu nazo,
Ente ento ennume wamu n’ente ennume ez’amaanyi.
Ensi yaazo erinnyikira omusaayi,
N’enfuufu yaazo erinnyikira amasavu.”
-
-
Yeremiya 46:10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Olunaku olwo lwa Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye; lunaku lwa kuwoolera ggwanga ku balabe be. Ekitala kijja kulya kikkute, era kijja kunywa omusaayi kiwone ennyonta, kubanga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, ateeseteese ssaddaaka mu nsi ey’ebukiikakkono ku lubalama lw’Omugga Fulaati.+
-