-
Ezeekyeri 38:4-6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Ndikukyusa ne nteeka amalobo mu mba zo+ ne nkuggyayo ggwe n’eggye lyo lyonna eddene,+ n’embalaasi zo n’abasajja abazeebagala, nga bonna bambadde ebyambalo eby’ekitiibwa, ekibiina ekinene, nga balina engabo ennene n’entono,* era nga bonna bakutte ebitala; 5 Abaperusi, Abeesiyopiya, n’Abaputi+ bali wamu nabo, era bonna balina engabo entono ne sseppeewo; 6 Gomeri n’abasirikale be bonna, ab’ennyumba ya Togaluma+ abava mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala, awamu n’abasirikale baabwe bonna—amawanga mangi gali naawe.+
-
-
Okubikkulirwa 19:17, 18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Era ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba, n’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: “Mujje wano, mukuŋŋaane wamu ku kijjulo kya Katonda ekinene,+ 18 mulye ennyama ya bakabaka, n’ey’abaduumizi b’amagye, n’ey’abasajja ab’amaanyi,+ n’ey’embalaasi, n’ey’abo abazeebagadde,+ n’ennyama y’abantu bonna, ab’eddembe n’abaddu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa.”
-