-
Eby’Abaleevi 26:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Ekiseera kyammwe eky’okuwuula kinaatuukanga ku makungula g’ezzabbibu, era n’amakungula gammwe ag’ezzabbibu ganaatuukanga ku kiseera eky’okusiga; era munaalyanga emmere yammwe ne mukkuta era munaabeeranga mu mirembe mu nsi yammwe.+ 6 Nja kuleeta emirembe mu nsi,+ era mujja kugalamira awatali n’omu abatiisa;+ nja kumalawo ensolo enkambwe mu nsi, era ekitala ky’olutalo tekiriyita mu nsi yammwe.
-