Isaaya 5:16 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 16 Yakuwa ow’eggye aligulumizibwa olw’okusala omusango;*Katonda ow’amazima, Omutukuvu,+ alyetukuza okuyitira mu butuukirivu.+ Ezeekyeri 36:23 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 23 ‘Nja kutukuza erinnya lyange ekkulu+ erivumaganyiziddwa mu mawanga, mmwe lye muvumaganyizza mu mawanga ago; era bwe nnaatukuzibwa mu mmwe mu maaso g’amawanga, amawanga gajja kumanya nti nze Yakuwa,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
16 Yakuwa ow’eggye aligulumizibwa olw’okusala omusango;*Katonda ow’amazima, Omutukuvu,+ alyetukuza okuyitira mu butuukirivu.+
23 ‘Nja kutukuza erinnya lyange ekkulu+ erivumaganyiziddwa mu mawanga, mmwe lye muvumaganyizza mu mawanga ago; era bwe nnaatukuzibwa mu mmwe mu maaso g’amawanga, amawanga gajja kumanya nti nze Yakuwa,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.