-
Ezeekyeri 45:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
45 “‘Bwe munaagabanyaamu ensi okuba obusika,+ munaawaayo eri Yakuwa ekitundu ku nsi yammwe okuba ekitundu ekitukuvu.+ Ekitundu ekyo kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu, n’emikono* 10,000 obugazi.+ Kyonna kijja kuba kitundu kitukuvu. 2 Mu kyo mujja kubaamu ekitundu ekyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya ekinaabaamu ekifo ekitukuvu; kijja kuba emikono 500 obuwanvu n’emikono 500 obugazi;+ era kijja kuba kyetooloddwa ettaka ery’okulundirako, nga lya mikono 50.+
-